1 Kings 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali mugezi okusinga abantu bonna; yali asinga ne Etani Omwezira ne Emani, Kalukoli ne Daruda batabani ba Makooli. Erinnya lye ne limanyika mu mawanga gonna ageetooloddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mwaka Sulemaani n'awanga Kiramu ebigero by'eŋŋaano emitwalo ebiri (20,000) n'amafuta amalongoose ebigero abiri (20) okuliisanga abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli mwaka Solomooni n'awanga Hiraamu kilo z'eŋŋaano obukadde buna mu emitwalo amakumi ana, n'omuzigo gw'emizayiti omulungi, lita enkumi nnya mu bina, okuliisa abantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'awa Kiramu ebigero by'eŋŋaano obukumi bubiri okuba emmere ey'ab'omu nnyumba ye, n'amafuta amalongoofu ebigero amakumi abiri: bw'atyo Sulemaani bwe yawanga Kiramu buli mwaka.