1 Kings 5:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayogera ku bifa ku miti, okuva ku ntolookyo z'omu Lebanoni okutuuka ku yissopo amera ku bisenge; n'attottola ebifa ku nsolo, ku binyonyi, ku byewalula, ne ku byennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani n’akuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'alagira ne bakuŋŋaanya abasajja emitwalo esatu (30,000) okuva mu Isiraeri yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Solomooni n'alagira ne bakuŋŋaanya mu Yisirayeli yonna abasajja emitwalo esatu ab'okukola omulimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Sulemaani n'asolooza abantu mu Isiraeri yenna; abaasoloozebwa ne baba abasajja obukumi busatu.