1 Kings 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu baavanga mu mawanga gonna ne bajja okuwulira amagezi ga Solomoni; baavanga ewa bakabaka bonna ab'ensi abaali bawulidde ku magezi ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni n’emyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasindikanga mu mpalo e Lebanooni nga buli mwezi aweerezayo omutwalo gumu. Baamalanga e Lebanooni omwezi gumu ate ne baddayo ewaabwe emyezi ebiri. Adoniraamu ye yali omukulu w'abo bonna abakuŋŋanyizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aweerezanga e Lebanooni abasajja omutwalo gumu gumu buli mwezi mu mpalo. Baamalanga omwezi gumu ku Lebanooni, ne bamala emyezi ebiri ewaabwe. Adoniraamu ye yakulira abaakuŋŋaanyizibwa okukola omulimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasindikanga e Lebanooni, buli mwezi kakumi mu mpalo: baamalanga omwezi ku Lebanooni, n'emyezi ebiri ewaabwe: era Adoniraamu ye yali omugabe w'abo abaasoloozebwa.