1 Kings 5:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Kiramu, kabaka w'e Tiiro bwe yawulira nti Solomoni bamusiize abeere kabaka okusikira kitaawe, n'atuma abaweereza be ewa Solomoni, kubanga Kiramu yali mukwano gwa Dawudi obudde bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n’emitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani yalina abasajja abaasitulanga emigugu emitwalo musanvu (70,000), abalala emitwalo munaana (80,000) be batemanga amayinja okuva ku nsozi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni era yalina abasajja emitwalo musanvu abeetissi, n'abalala emitwalo munaana abaayasanga amayinja mu nsozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Sulemaani yalina obukumi musanvu abaasitulanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemeranga ku nsozi;