1 Kings 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omanyi nti kitange Dawudi teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we kiggwa olw'entalo ezaali zimwetoolodde, okutuusa Omukama lwe yassa abalabe be wansi w'ebigere bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe ky’amayinja ag’omuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu n’amayinja amateme obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'alagira okuleeta amayinja amanene ag'omuwendo ne bagateeka mu musingi gwamu n'amayinja amabajje.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alagira ne baasa era ne boola amayinja amanene era amalungi ddala, nga ga kuzimbisa omusingi gw'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alagira ne batema ne baggyayo amayinja amanene, amayinja ag'omuwendo omungi, okussaawo emisingi gy'ennyumba n'amayinja amabajje.