1 Kings 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna, mpaawo mulabe oba ekiguddewo kyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaweesi ba Sulemaani n’aba Kiramu, wamu n’abasajja ba Gebali ne balongoosa n’okutegeka ne bategeka emiti n’amayinja eby’okuzimba yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abazimbi ba Sulemaani n'aba Kiramu n'aba Gebali ne balongoosa amayinja ago ne bategeka n'emiti n'amayinja eby'okuzimba Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazimbi aba Solomooni n'aba Hiraamu, n'abasajja abaava e Gebali ne boola amayinja ago, era ne bakomola emiti ne bagitegeka wamu n'amayinja gali, okuzimba Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abazimbi ba Sulemaani n'abazimbi ba Kiramu n'Abagebali ne bagalongoosa, ne bategeka emiti n'amayinja okuzimba ennyumba.