1 Kings 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ente kkumi ensavuwaze, n'ente amakumi asatu ennundire ku ttale, endiga n'embuzi kikumi, nga tobaze ngabi, nnangaazi n'ensowe, ko n'enkoko ensavuwaze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira Mukama Katonda we Yeekaalu olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yamuwanguza abalabe be bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omanyi nga kitange Dawudi, olw'entalo ze yalina okulwana n'ensi z'abalabe ezaali zimwetoolodde enjuyi zonna, teyasobola kuzimbira Mukama, Katonda we Ssinzizo, okutuusa nga Mukama amaze okumusobozesa okuwangula abalabe be bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we ennyumba olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yabateeka wansi w'ebigere bye.