1 Kings 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti yennyini yatwalanga ekitundu kyonna ekiri emitala w'eri ew'Omugga okuva e Tifusa okutuuka e Gaza, ne bakabaka bonna ab'emitala w'Omugga; yalina emirembe ku njuyi zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna, tewali mulabe newakubadde akabi akajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano Mukama, Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna, tewali mulabe wadde akabi akajja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna; tewali mulabe newakubadde akabi akajja.