1 Kings 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yalina ebisibo enkumi nnya eby'embalaasi ez'ebigaali, n'abeebagazi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno lagira abaddu bo bantemere emivule egy'e Lebanooni; nga bakolera wamu n'abaddu bange. Abaddu nja kubawa empeera nga bw'onooyagala mbawe kubanga nga bw'omanyi eno ewaffe teri bamanyi kutema miti nga Abasidoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano lagira bantemere emivule ku Lusozi Lebanooni. Abaweereza bange banaakolera wamu n'ababo. Abaweereza bo nja kubawa empeera ggwe gy'onooyagala mbawe. Nga bw'omanyi, eno ewaffe tetulina bamanyi kutema miti nga Basidoni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno lagira bantemere emivule ku Lebanooni; n'abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo era ndikuwa empeera olw'abaddu bo nga byonna bwe biriba by'oligamba: kubanga omanyi nga ku ffe tekuli n'omu alina amagezi okutema emiti okwenkana ab'e Sidoni.