1 Kings 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaamasaza bano buli mwezi baaleeteranga Solomoni kabaka emmere n'abo be yalyanga nabo; tewali kye baalekangayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “ Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n'asanyuka nnyo n'ayogera nti Mukama yeebazibwe leero awadde Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hiraamu bwe yafuna obubaka bwa Solomooni, n'asanyuka nnyo, n'agamba nti: “Mukama olwaleero yeebazibwe, eyawa Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n'asanyuka nnyo n'ayogera nti Mukama yeebazibwe leero awadde Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.