1 Kings 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baaleetanga mu bifo ebipimo by'eŋŋano n'essubi olw'embalaasi ng'etteeka bwe lyali ku buli omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti, “Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'ayogera nti Mpulidde byonna by'ontumidde eby'emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi nja kukola byonna nga bw'oyagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hiraamu n'aweereza Solomooni obubaka nti: “Obubaka bw'ontumidde mbufunye. Ku by'emiti emivule n'emiberosi, nja kukukolera byonna nga bw'oyagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'ayogera nti Mpulidde by'ontumidde: naakolanga byonna by'oyagala eby'emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi.