1 Kings 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yawa Solomoni amagezi, okutegeera ennyo, n'omutima omugazi obulala okwenkana obungi bw'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu bange baligiggya e Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja: ndigisiba mu binywa ne giseyerera ku nnyanja okutuuka mu kifo ky'olindaga olwo ndiragira okugisumululira eyo ne bagikuwa. Nze kye njagala okole kwe kuwanga abantu emmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza bange baligiggya ku Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja. Ndigisiba wamu ng'ebibaya okugiyisa ku nnyanja, gigobe mu kifo ky'olindaga. Ndiragira ne bagisumululira eyo, n'olyoka ogiggyayo. Ggwe kye njagala okole, kwe kufunira abantu bange emmere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu bange baligiggya ku Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja: era ndigisengeka okuba ebitindiro okuyita ku nnyanja okugenda mu kifo ky'olindaga, era ndiragira okugisumululira eyo, naawe oligiweebwa: era olikola kye njagala bw'onoowanga emmere ey'ab'omu nnyumba yange.