1 Kings 6:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebisenge by'Ekiggwa munda yabibembekako embaawo z'entolookyo, okuva ku mwaliiro gw'Ekiggwa wansi okutuusa waggulu ebisenge gye bikoma ku mikomba. Omwaliiro gw'Ekiggwa yagubikka embaawo eza sipulaasi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku bisenge eby’omunda n’assaako embaawo ez’emivule n’azikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu n’ayaliirirawo embaawo ez’emiberosi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba ebisenge by'ennyumba munda n'emiti gy'emivule; ate wansi n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebisenge by'Essinzizo wonna munda, n'abibikkako embaawo ez'emivule, wansi n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba ebisenge by'ennyumba munda n'emiti gy'emivule; okuva wansi w'ennyumba okutuuka ku bisenge eby'omu kasolya, n'abibikkako munda emiti: ne wansi w'ennyumba n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi.