1 Kings 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munda eri Ekiggwa gye kikoma yakutulako ekitundu kya mikono amakumi abiri, n'akibikka n'embawo ez'entolookyo okuva ku mwaliiro wansi okutuukira ddala waggulu. Bw'atyo mu Kiggwa n'akolamu Ekisenge eky'Omunda, Awatukuvu Ennyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayawuzaamu emabega wa yeekaalu, n’akolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga ky’ekisenge awaayimirirwanga okwogera, eky’awatukuvu ennyo, ng’akozesa embaawo ez’emivule okuva wansi okutuuka ku kasolya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munda wa Yeekaalu mu kitundu eky'emabega n'azimbayo ekisenge eky'embaawo ez'emivule okuva wansi okutuukira ddala waggulu, bw'atyo n'ayawula ku Yeekaalu ekifo kya mita mwenda obuwanvu n'obugazi, ekyo nga kye kifo Ekitukuvu Ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munda w'Essinzizo mu kitundu eky'emabega n'azimbayo ekisenge eky'embaawo ez'emivule okuva wansi okutuukira ddala waggulu, bw'atyo n'ayawula ku Ssinzizo ekifo kya mita mwenda obuwanvu n'obugazi, ekyo nga kye kifo Ekitukuvu Ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba emikono abiri mu njuyi ez'ennyumba ez'ennyuma n’embaawo ez'emivule okuva wansi okutuuka ku bisenge: yazimba mu yo munda okuba awayimibwa okwogera okuba awatukuvu ennyo.