1 Kings 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddiiro, mu maaso g'Ekisenge eky'Omunda, lyali lya mikono amakumi ana obuwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso g’ekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu maaso g'Ekifo ekitukuvu ennyo, ekitundu kya Yeekaalu ekisigaddeyo, obuwanvu bwayo bwali mikono ana (40).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ekitundu ky'Essinzizo ekisigaddewo kyali kya mita kkumi na munaana obuwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba ya yeekaalu eri mu maaso g'awayimibwa okwogera, obuwanvu bwayo bwali mikono amakumi ana.