1 Kings 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisenge ky'Ekisenge eky'Omunda yali akikoze munda mu Kiggwa, alyoke ateeke omwo Ssanduuku y'Endagaano ey'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munda mu Yeekaalu, n'azimbamu ekifo ekitukuvu ennyo, eky'okutekangaamu Ssanduuko y'Endagaano ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ategeka Ekifo Ekitukuvu Ennyo, okuteekamu Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ategeka awayimibwa okwogera wakati mu nnyumba munda, okuteekamu essanduuko ey'endagaano ya Mukama.