1 Kings 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa Solomoni kye yali azimbira Omukama kyali kya mikono nkaaga mu buwanvu, emikono amakumi abiri mu bugazi n'emikono amakumi asatu mu busimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, n’obugazi mita mwenda, n’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga (60), n'obugazi bwayo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwayo emikono asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo Kabaka Solomooni lye yazimbira Mukama lyali mita amakumi abiri mu musanvu obuwanvu, mita mwenda obugazi, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu.