1 Kings 6:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa munda Solomoni yakimaala ne zaabu atatabuddwamu kirala; mu maaso g'Ekisenge eky'Omunda n'assaawo enjegere ensiige zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’asabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, n’ayongerako n’enjegere eza zaabu mu maaso g’omu kisenge eky’omunda ekyali kibikiddwako zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeekaalu yonna munda nagibikako zaabu omulongoose, n'atimba emikuufu egya zaabu awayingirirwa mu kifo ekitukuvu ennyo, nga nakyo kibikkiddwako zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo lyonna munda n'alibikkako zaabu omulongoose, n'atimba emikuufu egya zaabu awayingirirwa mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, nga nakyo kibikkiddwako zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'abikka ku nnyumba munda ezaabu ennongoofu: n'atimba emikuufu egya zaabu mu maaso g'awayimibwa okwogera: n'abikkako zaabu.