1 Kings 6:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Kisenge eky'Omunda yakoleramu bakerubi babiri mu miti egy'oliva, ng'obugulumivu bwa mikono kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’akolawo bakerubi babiri ab’emiti egy’emizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'ateekamu bakerubi babiri ababagiddwa mu miti egy'emizeyituuni nga buli omu, obuwanvu bwe emikono kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n'ateekamu bakerubi babiri ababajjiddwa mu miti emizayiti, nga buli kerubi wa mita nnya n'ekitundu obuwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era awayimibwa okwogera n'akolawo bakerubi babiri ab'emiti egy'emizeyituuni, buli kerubi obuwanvu bwe emikono kkumi.