1 Kings 6:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiwaawaatiro eky'omukerubi omu nga kiweza emikono etaano, n'ekiwaawaatiro ekyokubiri emikono etaano; ng'okuva ku kasongezo k'ekiwaawaatiro ekimu okukoona ku kasongezo k'ekirala wawerawo emikono kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuwanvu bw’ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri n’obutundu busatu, n’ekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri n’obutundu busatu, ze mita nnya n’ekitundu okuva ku luuyi olumu olw’ekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olw’ekiwaawaatiro ekyokubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekiwawaatiro ekimu ekya kerubi kyali emikono etaano, n'ekiwawaatiro eky'okubiri ekya kerubi emikono etaano: ekiwawaatiro ekimu we kikoma, ne kinnaakyo we kikoma, ebbanga lyali emikono kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi kyali kiweza mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu. Okuva ekiwaawaatiro ekimu we kikoma n'okutuuka ekiwaawaatiro ekirala we kikoma, ebbanga lyali lya mita nnya n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekiwawaatiro ekimu ekya kerubi kyali emikono etaano, n'ekiwawaatiro eky'okubiri ekya kerubi emikono etaano: ekiwawaatiro ekimu we kikoma, ne kinnaakyo we kikoma, ebbanga lyali emikono kkumi.