1 Kings 6:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omukerubi owookubiri yaliko emikono kkumi; bakerubi bombi nga ba kigero kimu, n'enfaanana ye emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kerubi owookubiri naye yali mita nnya n’ekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu n’endabika yaabwe nga y’emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kerubi ow'okubiri yali emikono kkumi (10), bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kerubi omulala yali aweza mita nnya n'ekitundu obuwanvu. Bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kerubi ow'okubiri yali emikono kkumi: bakerubi bombi ekigero kyabwe kimu n'embala yaabwe emu.