1 Kings 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisasi mu maaso g'ekisenge ekinene eky'Ekiggwa kyali kya mikono amakumi abiri obuwanvu okwenkana n'obugazi bw'Ekiggwa, n'emikono kkumi obugazi mu bwenyi bw'Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awayingirirwa mu maaso g’ekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ng’obugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ng’obugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya n’ekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekisasi ekyali mu maaso ga Yeekaalu ya Mukama, obuwanvu bwakyo bwali emikono abiri (20), ng'obugazi bwakyo bwali emikono kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekisasi mu maaso g'Essinzizo kyali mita mwenda obuwanvu, okwenkanankana n'obugazi bw'Essinzizo, ne mita nnya n'ekitundu obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekisasi ekiri mu maaso ga yeekaalu y'ennyumba, obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi abiri, ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali: obugazi bwakyo mu maaso g'ennyumba bwali emikono kkumi.