1 Kings 6:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulyango oguyingira Awatukuvu Ennyo yagukolera enzigi mu miti gy'oliva ez'emyango etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto n’empagi ez’enzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mulyango oguyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'awangamu oluggi olw'omuti emizeyituuni, ng'omwango gwalwo gwa nsonda ttaano, omusongovu ku ludda olwa waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulyango oguyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'awangamu oluggi olw'omuti omuzayiti, ng'omwango gwalwo gwa nsonda ttaano, omusongovu ku ludda olwa waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awayingirirwa awayimibwa okwogera n'akolawo enzigi ez'emiti egy'emizeyituuni; akabuno n'emifuubeeto byali kitundu kya kutaano kya kisenge.