1 Kings 6:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ngeri ye emu yakola emyango ena mu miti gy'oliva olw'omulyango oguyingira mu Ddiiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ngeri y’emu n’akola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, n’ateekawo emifuubeeto egy’emizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akolera omulyango gwa wankaaki wa Yeekaalu, omwango ogw'omuti omuzeyituuni gwa nsonda nnya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'akolera omulyango gwa wankaaki w'Essinzizo, omwango ogw'omuti omuzayiti gwa nsonda nnya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'atyo n'akolera omuzigo ogwa wankaaki wa yeekaalu emifuubeeto gya mizeyituuni, ku kitundu ky'ekisenge eky'okuna;