1 Kings 6:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwezi ogwomunaana, Buli, Ekiggwa ne kimalirizibwa, na byonna eby'okukizimba nga bwe byali bitegekeddwa; yakizimbira emyaka musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi Buli, gwe mwezi ogw’omunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ng’ebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ng’agizimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwezi ogw'omunaana, gwe mwezi Buli, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obufuzi bwa Sulemaani, ennyumba ya Mukama yonna ne ggwa okuzimbibwa, ng'entegeka yaalyo bwe yali. Sulemaani lyamutwalira emyaka musanvu okugizimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwezi ogw'omunaana, gwe mwezi Buuli, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obufuzi bwa Solomooni, Essinzizo lyonna ne liggwa okuzimbibwa, ng'entegeka yaalyo bwe yali. Solomooni lyamutwalira emyaka musanvu okulizimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwezi Buli, gwe mwezi ogw'omunaana, ne bamala ennyumba mu bitundu byayo byonna, era ng'embala yaayo yonna bwe yali. Bw'atyo yamala emyaka musanvu okugizimba.