1 Kings 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kuzimba Ekiggwa, amayinja agamaze okubajjibwa mu kirombe gokka ge gaakozesebwa; ennyondo, embazzi na buli kya kyuma kyonna, tebyawulirwako mu Kiggwa nga kizimbibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali nga bazimba yeekaalu, baakozesanga amayinja agaali galongosereddwa gye bagatemeranga, era tewaawulirwa kuvuga okw’engeri yonna okw’ennyondo newaakubadde embazzi wadde ekyuma eky’engeri yonna mu kifo awaali wazimbirwa yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ennyumba bwe baali bagizimba yazimbibwa n'amayinja agalongoosezzebwa gye bagabajjira: so tewaali nnyondo newakubadde embazzi newakubadde ekintu kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba bwe baali bagizimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo bwe baali balizimba, amayinja ge baazimbisa gaalongooserezebwanga mu kifo gye baagaasiza, era tewaali nnyondo wadde embazzi oba ekintu ekirala kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu Ssinzizo nga balizimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba bwe baali bagizimba yazimbibwa n'amayinja agalongoosezzwa gye bagabajjira: so tewaali nnyondo newakubadde embazzi newakubadde ekintu kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba bwe baali bagizimba.