1 Kings 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulyango gw'oku mwaliiro ogusooka gwali ku luuyi olw'emaserengeta olw'Ekiggwa; amadaala ageenyooleza gaayambukanga okugenda ku mwaliiro ogwokubiri, ate ne gasinziira awo okwambuka ku gwokusatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulyango ogw’ekisenge ekya wakati gwali ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu; waabangawo amadaala agaakozesebwanga okugenda mu kisenge ekya wakati, n’okweyongerayo mu kisenge ekyokusatu ekya waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluggi oluyitibwamu okuyingira mu bisenge ebya wansi ebyazimbibwa ku mabbali ga Yeekaalu, lwali ku ludda olwa ddyo olwa Yeekaalu. Waaliwo amadaala ageenyoolanyoola agalinnyirwangako okugenda mu bisenge eby'omukalina esooka n'ey'okubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluggi oluyitibwamu okuyingira mu bisenge ebya wansi ebyazimbibwa ku mabbali g'Essinzizo, lwali ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo. Waaliwo amadaala ageenyoolanyoola agaalinnyirwangako okugenda mu bisenge eby'omu kalina esooka n'eyookubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluggi olw'ebisenge eby'oku bbali ebya wakati lwali ku luuyi olwa ddyo olw'ennyumba: ne balinnyiranga ku madaala ageenyoolanyoola okugenda mu bisenge ebya wakati, ne bava mu bya wakati ne bagenda mu by'okusatu.