1 Kings 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ngulu kwa gano kwaliko olubu lw'amayinja ag'omuwendo, amabajje okutuukana n'ekigero ekyetaagibwa, n'embaawo ez'entolookyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waggulu okumpi n’akasolya waaliyo amayinja ag’omuwendo omungi, agatemebwa nga bwe gaagerebwa, n’emiti egy’emivule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne waggulu waaliwo amayinja ag'omuwendo omungi, amabajje, nga bwe gagerebwa, n'emiti egy'emivule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kungulu w'amayinja ago, kwaliko amayinja amalala era amalungi ddala amakomole mu bipimo byago, era n'embaawo ez'emivule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne waggulu waaliwo amayinja ag'omuwendo omungi, amayinja amabajje, nga bwe gagerebwa, n'emiti egy'emivule.