1 Kings 7:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkata waggulu ku mpagi yazikolera obutimba obuluke mu mikuufu, buli nkata n'etimbibwako musanvu musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola empagi zombi n’ebitikkiro byakwo nga zitimbiddwa buli emu ng’erina ebiruke ng’amalanga ag’amakomamawanga, musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mutwe ogwali ku buli mpagi, n'akolerako emikuufu musanvu egirukiddwa mu ngeri y'akatimba,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mutwe ogwali ku ntikko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi musanvu eby'emikuufu egirukiddwa ng'akatimba,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waaliwo ebitimba eby'omulimu ogulukibwa, n'emiggo egy'omulimu ogw'emikuufu, okuba ku mitwe egyali ku ntikko z'empagi; omusanvu bya ku mutwe gumu, n'omusanvu bya ku mutwe ogw'okubiri.