1 Kings 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola embu bbiri ez'amakomamawanga okwetooloola buli katimba, okuwoomesa enkata ezaali ku ntwe z'empagi zombi; buli nkata yagikolera kye kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebitikkiro ebyali ku mpagi ez’olubalaza zakolebwa ng’amalanga ag’ebimuli eby’amakomamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'akolako n'embu bbiri ez'ebifaananyi by'amakomamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era n'akolako n'embu bbiri ez'ebifaananyi by'amakomamawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bwe yakola empagi: ne waba embu bbiri ez'okwetooloola ku kitimba ekimu, okubikka ku mitwe egyali ku ntikko z'empagi: era bw'atyo bwe yakola omutwe ogw'okubiri.