1 Kings 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate era waggulu ku mpagi, mu kibya ky'enkata, ng'ovudde ku katimba, kwaliko embu bbiri ez'amakomamawanga ebikumi bibiri okwetooloola buli nkata; kye kimu ne ku mpagi endala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku buli nkufiira ey’empagi kwaliko ekifaanana ng’ebakuli okuliraana n’omulimu ogufaanana ng’ekintu ekiruke, era waaliwo amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu okwetooloola ebitikkiro ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'emitwe egyo giteereddwa mu kitundu ekyekulungirivu ku mpagi zombi waggulu w'ekifaananyi eky'akatimba. Ku buli mutwe kwaliko ebifaananyi by'amakomamawanga bibiri (200) mu mbu bbiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'emitwe egyo giteereddwa mu kitundu ekyekulungirivu ku mpagi zombi waggulu w'ekifaananyi eky'akatimba. Ku buli mutwe kwaliko ebifaananyi by'amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu bbiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne waggulu waaliwo emitwe ku mpagi zombi, kumpi n'olubuto olwaliraana ekitimba: n'amakomamawanga gaali ebikumi bibiri, mu mbu okwetooloola ku mutwe ogw'okubiri.