1 Kings 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asimba empagi mu kisasi ky'Ekiggwa; empagi emu n'agissa ku mukono ogwa ddyo, n'agiyita Yakini; empagi endala n'agissa ku mukono ogwa kkono, n'agiyita Bowazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola empagi bbiri ku lubalaza lwa yeekaalu, emu n’agizimba ku luuyi olw’obukiikaddyo n’agituuma Yakini, n’eyokubiri n’agizimba ku luuyi olw’obukiikakkono n’agituuma Bowaazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiramu n'asimba empagi ku kisasi kya Yeekaalu: n'asimba empagi eya ddyo, n'agituuma erinnya lyayo Yakini: n'asimba empagi eya kkono, n'agituuma erinnya lyayo Bowaazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hiraamu n'asimba empagi ezo zombi mu maaso g'ekisasi ky'Essinzizo. N'asimba ey'oku ludda olwa ddyo, n'agituuma erinnya Yakini, n'asimba ey'oku ludda olwa kkono, n'agituuma erinnya Bowaazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asimba empagi ku kisasi kya yeekaalu: n'asimba empagi eya ddyo, n'agituuma erinnya lyayo Yakini: n'asimba empagi eya kkono, n'agituuma erinnya lyayo Bowaazi.