1 Kings 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkata ku mitwe gy'empagi nga ziri mu kifaananyi ky'ekimuli ky'amalanga. N'amaliriza bw'atyo omulimu gw'empagi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebitikkiro byabyo byakolebwako ebimuli eby’amalanga, era bwe gutyo omulimu ogw’okuzimba empagi ne guggwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku ntikko z'empagi kwaliko omulimu ogw'ebimuli eby'amalanga: bwatyo Kiramu bweyamaliriza omulimu gw'empagi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ntikko z'empagi ezo kwali kukoleddwako ebifaananyi by'ebimuli by'amalanga. Bwe gutyo omulimu ogw'okukola empagi ne gumalirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku ntikko z'empagi kwaliko omulimu ogw'ebimuli eby'amalanga: bwe gutyo omulimu gw'empagi bwe gwamalibwa.