1 Kings 7:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate wansi w'omugo okwetooloola Ennyanja kwali kusibiddwako endeku, ze ndeku kkumi buli mukono. Endeku zaali ziweeseddwa mu nnyiriri bbiri, nga zonna n'Ennyanja biri ekintu kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wansi w’omugo gwayo kwaliko entaabwa okugyetooloola, kkumi buli butundu busatu obwa mita, era nga ziri embu bbiri, ezasaanuusibwa nayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wansi w'omuggo gwayo okwetooloola waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi eby'ebiryo okugyetooloola, ezawesebwa awamu ne tanka ezo, obugulumivu bwabyo emikono kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wansi w'omugo gw'ogutanka ogwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ekiryo ezaaweesebwa awamu n'ogutanka, obuwanvu bwazo mita nnya n'ekitundu okugwetooloola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wansi w'omuggo gwayo okwetooloola waaliwo entaabwa ezaagyetooloola, emikono kkumi, nga zeetooloola ennyanja enjuyi zonna: entaabwa zaali mbu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.