1 Kings 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyanja yali etuuziddwa ku nte ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunudde mambuka, essatu buvanjuba, essatu maserengeta, n'essatu bugwanjuba. Ennyanja okwo kwe yali etudde, ng'ebyensuti byazo bitunuulidde entobo y'Ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettanka ennene yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, esatu nga zitunudde mu bukiikakkono, n’endala essatu nga zitunudde ebugwanjuba, n’endala essatu nga zitunudde mu bukiikaddyo, n’endala essatu nga zitunudde ebuvanjuba, era ng’ebitundu byabyo eby’emabega nga bitunuuliraganye mu masekkati gaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettanka yatuula ku bifaananyi eby'ente kkumi na bibiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n'essatu nga zitunuulira obugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiikaddyo, n'essatu nga zitunuulira obuvanjuba: enkoggo zaazo zonna nga zitunudde munda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogutanka ogwo ogunene gwatuuzibwa ku bifaananyi by'ente kkumi na bibiri eby'ekikomo, ebitunuulidde ebweru: ebisatu nga bitunuulidde mu bukiikakkono, ebisatu ebugwanjuba, ebisatu mu bukiikaddyo, n'ebisatu ebuvanjuba, emikira gyabyo nga giri munda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira obugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira obuvanjuba: ennyanja n'eteekebwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.