1 Kings 7:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubiri gw'Ennyanja nga gwenkana obugazi bw'ekibatu; omugo gwayo nga guli ng'omugo gw'ekikopo, era nga guli ng'omugo gw'ekimuli ky'eddanga ekyanyizza. Yali egendamu bati z'amazzi enkumi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugazi bwayo yali oluta lumu, n’omugo gwayo gwakolebwa ng’omugo gw’ekibya, ng’ekimuli ky’amalanga. Yajjulanga lita emitwalo ena mu enkumi nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubiri gwa ttanka gwali oluta lumu. Omugo gwayo gwali gukoleddwa ng'o gw'ekibya era ng'ekimuli kyamalanga. Ettanka eyo nga egyamu ensuwa enkumi bbiri (2,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya era ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka ogwo gwali gugyamu lita emitwalo ng'ena mu enkumi nnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obugazi bwayo luta; n'omuggo gwayo gwakolebwa ng'omuggo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: yagyamu ensuwa enkumi bbiri.