1 Kings 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakolawo obutandaalo kkumi obw'ekikomo, nga buli kamu ka mikono ena obuwanvu, emikono ena obugazi, ate emikono esatu obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola n’ebitebe ebiseetulwa, mu bikomo buli kimu obuwanvu bwakyo mita emu n’obutundu munaana, n’obugazi bwe bumu, ate obugulumivu mita emu n’obutundu busatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebigaali kkumi eby'ekikomo, ekigaali obuwanvu bwakyo emikono ena, n'obugazi bwakyo emikono ena, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hiraamu n'akola ebituuti kkumi eby'ekikomo nga buli kimu kya buwanvu bwa mita emu n'obutundu munaana, obugazi bwa mita emu n'obutundu munaana n'obugulumivu bwa mita emu n'obutundu busatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola entebe ekkumi za bikomo; entebe emu obuwanvu bwayo emikono ena, n'obugazi bwayo emikono ena, n'obugulumivu bwayo emikono esatu.