1 Kings 7:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutandaalo bwali bukoleddwa mu ngeri eno: bwalina enzizi ez'obukiika nga zigatta n'enzizi ez'obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebitebe ebyo by’akolebwa bwe biti: byalina enkulukumbi mu myango gyabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byali bikoleddwa mu mbaati ezenkanankana enjuyi zonna ennya, nga ziteekeddwa mu fuleemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byali bikoleddwa mu mbaati ezenkanankana enjuyi zonna ennya, nga ziteekeddwa mu fuleemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulimu gw'entebe gwali bwe guti: zaaliko enkulukumbi; ne waba enkulukumbi wakati w'amadaala: