1 Kings 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akasolya kaali ka miti gya ntolookyo, waggulu ku njaliiro ezaali ziwaniriddwa ku mpagi. Enjaliiro zaali amakumi ana mu ttaano mu mbu ssatu, nga ku buli lubu kuliko kkumi na ttaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne luserekebwa n’emivule ku mikiikiro amakumi ana mu etaano, buli lunyiriri nga lulimu kkumi na ttaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waggulu w'ebisenge ebyazimbibwa ku mpagi ana mu ettaano (45), kkumi na ttaano (15) mu buli lubu, ne wabikkibwako embaawo ez'omuvule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waggulu w'ebisenge ebyazimbibwa ku mpagi amakumi ana mu ettaano, kkumi na ttano mu buli lubu, ne wabikkibwako embaawo ez'omuvule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebikkibwako waggulu emivule ku mikiikiro ana mu etaano egyali ku mpagi; buli lubu kkumi na ttaano.