1 Kings 7:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munda w'akatandaalo waaliyo omumwa omwekulungirivu, nga gukka munda omukono gumu. Omumwa ogwo nga gusse okutuuka ku ntobo yaagwo, nga guweza omukono gumu n'ekitundu, ne ku mumwa nga kwetooloddwako ebifaananyi ebyole. Zo enzizi z'obutandaalo zaali za nsonda nnya, nga si neekulungirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitebe ekimu kyalina akamwa akalina omwango omwekulungirivu ogwali kitundu kya mita mu kukka. Akamwa kaagwo kaali keekulungirivu n’omulimu ogwa wansi kwe kyaterezebwanga, nga gwa butundu musanvu obwa mita mu kukka. Ku kamwa kaagwo kwaliko enjola, n’enkulumbi zaakyo nga si nnekulungirivu naye ng’enjuyi zonna zenkanankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waggulu ku mutwe, gwe kigaali waaliwo Omugo omwekulungirivu omuteekebwa ebbenseni, okuva ku mutwe gwe kigaali okudda waggulu gwali omukono gumu: ate okudda wansi gwali omukono gumu n'ekitundu: kwaliko enjola okwetooloola omugo gwonna. Embaati zaakyo zaalina enjuyi nnya ezenkanankana, nga si neekulungirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waggulu ku mutwe, waaliwo ekituli ekitereezebwamu ebbenseni, nga kya sentimita amakumi ana mu ttaano obugulumivu, ne sentimita kkumi na munaana obwekulungirivu. Kyaliko enjola okwetooloola akamwa kaakyo. Embaati zaakyo zaalina enjuyi nnya ezenkanankana, nga si nneekulungirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akamwa kaayo munda w'omutwe ne waggulu gwali mukono gumu: n'akamwa kaayo kaali keekulungirivu ng'omulimu ogw'ekitereezebwako bwe guli, mukono ko ekitundu: era ku kamwa kaayo kwaliko enjola, n'enkulukumbi zaazo nga zeesonga obutaba n'ekulungirivu.