1 Kings 7:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamuziga ennya zaali wansi wa mbaati, ng'emisingi gyazo giyungiddwa ku katandaalo. Nnamuziga emu yali ya mukono gumu n'ekitundu obusimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnamuziga ennya zaali wansi w’enkulumbi; n’emisingi gya nnamuziga gyali gikomereddwa ku kitebe. Okusala mu bukiika bwa nnamuziga emu bwali obutundu musanvu obwa mita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnamuziga ennya zaali wansi w'embaati, ng'ebyuma kwe zeetooloolera biweeseddwa nga tebyawuddwa ku bikondo. Obugulumivu bwa nnamuziga mukono gumu n'ekitundu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnamuziga ennya zaali wansi w'embaati, ng'ebyuma kwe zeetooloolera biweeseddwa nga tebyawuddwa ku bikondo. Obugulumivu bwa nnamuziga, bwali sentimita nkaaga mu musanvu n'obutundu butaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bannamuziga abana baali wansi w'enkulukumbi; n'emikiikiro gya bannamuziga gyali mu ntebe: n'obugulumivu bwa nnamuziga mukono ko ekitundu ky'omukono.