1 Kings 7:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamuziga zaakolebwa ng'ez'ebigaali; emisingi, empanka, empagi n'enkata, byonna nga biweese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnamuziga zaakolebwa nga nnamuziga ez’amagaali, era kwaliko emisingi, n’empanka, n’empagi, n’emisumaali nga byonna by’akolebwa mu kyuma ekisaanuuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z'ebigaali ebikozesebwa mu ntalo. Ebyuma kwe zeetooloolera, n'empanka zaazo, n'empagi zaazo, n'emisingi gyazo, byonna byali bya kikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z'ebigaali ebikozesebwa mu ntalo. Ebyuma kwe zeetooloolera, n'empanka zaazo, n'empagi zaazo, n'emisingi gyazo, byonna byali bya kikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulimu gwa nnamuziga gwali ng'omulimu gwa nnamuziga w'eggaali: emikiikiro gyako ne bannamuziga baako n'amagulu gaako n'enkata zaako byonna byali bisaanuuse.