1 Kings 7:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli katandaalo kaalina emikono ena, gumu ku buli nsonda, emikono n'akatandaalo byali byonna ekintu kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kwaliko emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli kitebe era gyonna nga gya kika kyekimu n’ekitebe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku buli nsonda ennya, kwaliko ekikondo ekyasaanusirizibwa awamu n'ekigaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsonda zonna ennya eza buli kikondo, mwalimu emiziziko ena kwe kinywerera, nga giweeseddwa nga tegyawuddwa ku kituuti kyennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli ntebe: emisituliro gyako gyali gya ntebe yennyini.