1 Kings 7:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ngulu ku katandaalo kwaliko akagongo okwetooloola, akaweza ekitundu ky'omukono obuwanvu. Amagulu n'enzizi byonna byali biyungiddwa ku ngulu kw'akatandaalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ntikko eya buli kitebe kwaliko engeri ey’ekikoba ekyekulungirivu; okukka kwakyo obutundu bubiri obwa mita, n’embiriizi zaakyo n’enkulukumbi ebyagiwaniriranga, byakwatagananga ku ntikko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ntikko ye kigaali, kwaliko omuge omwekulungirivu, obugulumivu bwagwo kitundu kya mukono: Empagi zaakyo n'embaati zaakyo byali biweeseddwa nga tebyawuddwa ku kigaali kyennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ntikko y'ekituuti kwaliko ekintu ekyekulungirivu, nga kya sentimita amakumi abiri n'ekitundu. Empagi zaakyo n'embaati zaakyo byali biweeseddwa nga tebyawuddwa ku kituuti kyennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku ntikko y'entebe kwaliko ekintu eky'ekulungirivu obugulumivu bwakyo kitundu kya mukono: ne ku ntikko y'entebe emikono gyako n'enkulukumbi zaako byali bwe bityo.