1 Kings 7:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku magulu n'enzizi yayolako bakerubi, empologoma, n'enkindu buli we yasobolanga, n'emige gy'ebimuli okubyetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku biwanirira ne ku nkulukumbi, Kiramu yakolako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’eby’empologoma, n’eby’enkindu mu buli kifo omwali ebbanga, era n’ayolako ebimuli okwetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku bipande by'empagi zaakyo ne ku mbaati zaakyo, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n'empologoma, n'enkindu we bisobola okuggya, n'emige gy'ebimuli okwetooloola wonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku bipande by'empagi zaakyo ne ku mbaati zaakyo, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n'empologoma, n'enkindu we bisobola okugya, n'emige gy'ebimuli okwetooloola wonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku bipande by'emikono gyako ne ku nkulukumbi zaako n'ayolako bakerubi n'empologoma n'enkindu, ng'ekigero bwe kyenkana ekya buli kinnakimu, emigo nga gyetooloola.