1 Kings 7:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ebinaabirwamu kkumi eby'ekikomo, nga buli kimu kigendamu bati amakumi ana ez'amazzi. Buli kinaabirwamu nga kya mikono amakumi ana obwagaagavu; buli kimu kyali kya kutuula ku kamu ku butandaalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka akola amabensani kkumi, nga ga kikomo, buli emu ng’egyamu lita lunaana mu kinaana, era buli emu nga yenkana mita emu ne desimoolo munaana obugazi, ate buli bensani ng’etuula ku kitebe kyayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'ebikomo: nga buli bbenseni eggyaamu ensuwa ana (40), era nga obugazi bwayo emikono ena: ku bigaali bino ekkumi (10), ku buli kimu kwaliko ebbenseni emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hiraamu n'akola ebinaabirwamu kkumi eby'ekikomo, kimu kimu ku buli kituuti. Buli kinaabirwamu kyali kya mita emu n'obutundu munaana obukiika, okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nga kigyamu lita nga lunaana mu kinaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebinaabirwamu kkumi bya bikomo: ekinaabirwamu ekimu kyagyamu ensuwa amakumi ana: na buli kinaabirwamu kyali kya mikono ena: ne ku ntebe ekkumi kinneemu ne kubaako ekinaabirwamu ekimu.