1 Kings 7:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiramu yakola ensuwa, ebitiiyo, n'ebibya ebikozesebwa mu kumansira. Kiramu bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna ogwa kabaka Solomoni mu Kiggwa ky'Omukama:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola n’ensuwa, n’amabensani, n’ebijiiko, n’amabensani ag’okumansira. Bw’atyo Kiramu n’amaliriza omulimu gwa yeekaalu ya Mukama gwonna gwe yakolera Kabaka Sulemaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiramu n'akola ebbenseni, ebisena ne bbakuli. Bw'atyo Kiramu n'amalira ddala omulimu gwonna gwe yakolera kabaka Sulemaani mu Yeekaalu ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hiraamu n'akola ebbenseni, n'ebisena n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira. Bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna gwe yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiramu n'akola ebinaabirwamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kiramu n'amalira ddala omulimu gwonna gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Mukama: