1 Kings 7:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amakomamawanga ebikumi ebina ku lw'ennyiriri ebbiri ez'obutimba; amakomamawanga aga buli lubu lwa butimba gaali nago mu nnyiriri bbiri ezaali zitimbiddwa ku nkata ezaakula ng'ebibya ezaali ku ntwe z'empagi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebitone ebikumi ebina eby’amakomamawanga ebyali mu mbu ebbiri, ebyali bibikka ku nkufiira ez’empagi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebifaananyi by'amakomamawanga ag'ekikomo bina (400), nga gali mu mbu bbiri okwetooloola buli emu ku mpagi ezo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ebifaananyi by'amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo, agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amakomamawanga ebikumi bina ag'okubitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bibya byombi eby'emitwe egyali ku mpagi;