1 Kings 7:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensuwa, ebitiiyo, n'ebibya ebikozesebwa mu kumansira. Ebintu byonna Kiramu bye yakolera kabaka Solomoni olw'Ekiggwa ky'Omukama yabikola mu kikomo ekizigule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ensuwa, n’ebisena, n’amabensani agamansira. Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama byali bya bikomo bizigule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola entamu, ebisena n'ebbakuli: ebintu ebyo byonna Kiramu bye yakolera kabaka Sulemaani mu Yeekaalu ya Mukama byali bya kikomo ekizigule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'entamu, n'ebisena, n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira. Ebintu ebyo byonna Hiraamu bye yakolera Kabaka Solomooni bikozesebwenga mu Ssinzizo, byali bya kikomo ekizigule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'entamu n'ebisena n'ebibya: ebintu ebyo byonna Kiramu bye yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Mukama byali bya bikomo bizigule.