1 Kings 7:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yabikozeseza mu butiba obw'ebbumba mu lusenyi lwa Yorudani, wakati wa Sukkoti ne Zaretani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zalesani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu ebyo, kabaka yabiweeseza mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati w'ebibuga Sukkosi ne Zalesani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu ebyo, kabaka yabiweeseza mu lusenyi lwa Yorudaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati w'ebibuga Sukkoti ne Zaretaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati w'e Sukkosi ne Zalesani.